Jeremiah 8:5-10

5 aKale lwaki abantu bange bano
banvaako ne bagendera ddala?
6 bNawuliriza n’obwegendereza
naye tebayogera mazima;
tewali muntu yenna yeenenya bibi byakoze n’okwebuuza nti,
‘Kiki kino kye nkoze?’
Buli muntu akwata kkubo lye
ng’embalaasi efubutuka ng’etwalibwa mu lutalo.
7 cEbinyonyi ebibuukira mu bbanga
bimanyi ebiseera mwe bitambulira;
ne kaamukuukulu n’akataayi ne ssekanyolya
bimanyi ebiseera mwe bikomerawo,
naye abantu bange
tebamanyi biragiro bya Mukama.”

8 dMuyinza mutya okwogera nti,
“Tuli bagezi nnyo, n’amateeka ga Mukama tugalina,
ate nga ekkalaamu y’abawandiisi ey’obulimba
yeebikyusizza.
9 eAbagezigezi baliswala ne bakeŋŋentererwa
era balitwalibwa.
Bagaanyi ekigambo kya Mukama,
magezi ki ge balina?
10 fNoolwekyo bakazi baabwe
ndibagabira abasajja abalala
n’ennimiro zaabwe
zitwalibwe abantu abalala.
Bonna ba mululu okuva ku asembayo wansi okutuuka ku akomererayo waggulu,
nnabbi ne kabona bonna balimba ne babba abantu.
Copyright information for LugEEEE